Gavumenti eyongezezza emisolo ku bbiya, sigala, ebitamiiza nga wine n’enkagaali, ebikolebwa mu ngano n’ebikolebwa ba mu mbaawo.
Okufuna paasipoota kati omuntu yetaaga emitwalo 15 okuva ku mitwalo 12
Abagaala paasipoota eza mangu nga zifuluma mu ssaawa 24, omuntu wakusasula emitwalo 30
Mu kawefube w’okutaasa obutonde bw’ensi, emisolo ku motoka enkadde gyeyongedde ng’ezitunuuliddwa ennyo zeeziri mu myaka etaano ne waggulu.
Kyokka ensimbi ezijjibwa ku masimu g’ebweru zikendezeddwa naddala eri ago agagenda mu mawanga ga East Africa.
Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija anyonyola mu lufuutifuuti
Embalirira esomeddwa ya busiriivu 24.
Gavumenti esuubira okukungaanya obusiriivu 11 okuva ku busiriivu mwenda obwakunganyiziddwa omwaka guno
Minisita w’eby’ensimbi Matia Kasaija agambye nti mu kadde kano ebbanja lya Uganda lyakwongera okwetuuma okutuuka ku buwumbi musanvu.
Kasaija agamba nti ebbanja lino okulinnya kivudde ku nsimbi Uganda z’eyongedde okwewola okukola ku nguudo n’ebyobuzimbi ebirala ng’amalwaliro n’amasomero
Minisita agambye nti kino tekitiisa kubanga Uganda esobola bulungi nnyo ebbanja lino okusinziira ku nkulakulana yaalyo
Minisita kyokka araze okwenyamira nti ensimbi za Uganda zizze zinaabuuka okusinziira ku nsimbi z’amawanga amalala.
Wano agambye Banka y’eggwanga yakufuba okulaba nti kino kikolebwaako
Eby’okwerinda
Gavumenti yakussa nnyo amaanyi ku by’okwerinda mu mwaka ogujja obuwumbi 1600
Zino zakukola ku kuwandiisa abasirikale n’abajaasi abapya n’okubatendeka
Okugula ebyuuma eby’omulembe
Okukuuma emirembe mu bifo ebirimue ntalo n’okwongeza emisaala gy’abasirikale n’abajaasi okubawa webasula awalungi, eby’obujjanjabi n’okubasobozesa okwewola.
Enguudo
Enguudo endala ezigenda okukolebwa kuliko:
Kampala – Entebbe Express okutuuka e Munyonyo , Mpigi – Kanoni , okugaziya Kampala Northern Bypass ; Kanoni – Sembabule – Villa Maria, Mukono – Katosi/ Kisoga – Nyenga ne Mukono – Kayunga –Njeru ;
Zino nazo zakukolebwaako
Mityana – Mubende , Kibuye – Entebbe Airport , Kampala – Mukono , Nansana – Busunju; Masaka – Bukakata ne Luuka – Kalangala ;
Enguudo ezigenda okukolebwa omwaka ogujja.
Atiak – Nimule , Maracha ne Koboko Kafu – Kiryandongo , Bundibugyo ;
Rwentobo – Kabale – Katuna road , Ishaka – Kagamba and Kabale Town road
Masaka – Nyendo (8km), Seeta – Namugongo (7.2km), Kyaliwajala-Kira (3.5km), Naalya-Kyaliwajala (2.5km), Namugongo Ring road (1.8km) ne Shrine Access (1.8km) ne Nakasongola road
Ebyobulimi
Ebyobulimu bissiddwaamu obuwumbi 479
Gavumenti amaanyi yakugassa ku kukubiriza abantu okulongoosa mu bintu byebasindika ebweru.
Tutandikidde ku ba mwaanyi okulongoosa mu kaawa okwongera ku nsimbi eziyingira mu ggwanga
Okulwanyisa obuwuka obuluma ebirime ebitali bimu
Basuubizza okuyamba ku basuubuzi abatali bamu okuli okuwagira kkampuni ezitali zimu mu byobulimi n’obulunzi anokoddeyo kkampuni nga
Premier dairies ekola amata ga Mega Milk , Kabale potatoes processing and Research facility nga bano balina abalimi abasoba mu 450 abalima obumonde obukolwaamu chips
Abayigiriza okulima obutiko nga baweereza abantu 7,000 mu disitulikiti okuli eye Kabale, Kisoro, Kanungu, Bushenyi, Kisoro,ne Ntungamo;
Ebyobusuubuzi
Gavumenti esuubizza okwanguyiza embeeera abasuubuzi mwebakolera g’eyita mu kwanguya okugaba lisinsi, n’okukaluubiriza abasuubuzi okufuna byebetaaga okukola
Minista Kasaija era agambye nti ekitongole ekiramuzi naddala kkooti ekola ku by’obusuubuzi yakuleeta tekinologiya ow;’omulembe okukola ku misango gy’abasuubuzi mu budde
Mu byobulamu
Ensimbi eziweza akasirivu kamu mu obuwumbi 270 zeezissiddwa mu byobulamu
Gavumenti etunuuliddwa okuzimbibwa eddwaliro ly’omulembe erya bakyala e Mulago nga lyakusakirirwa banka y’abasiraamu
Okuddabiriza eddwaliro lye Mulago kwakugenda mu maaso nga kusuubirwa okuggwa mu December w’omwaka 2016
Gavumenti egenda kugula ambulensi ezinakola mu kampala n’ebitundu ebyetoloddewo
Mu Malwaliro agagend a okulongoosebwa kuliko erye Rukunyu, Maracha, Kansunganyanja, ne Rwashamaire health centers;
Ebitanda byakugulwa mu malwaliro amakulu 10 , n’amatonotono 50 okwetoolola eggwanga lyonna.
Amalwaliro amalala agagenda okwongera okuddabirizibwa kuliko erye Adjumani, Kitgum, Kabarole, Kiboga. Kapchorwa, Kamwenge Pallisa, Itojo, Kitagata Bugiri, Atutur, Apac, Abim, Bundibugyo, Kaberamaido ne Masindi
Eddwaliro lye Kawolo lyakuzimbibwa buto kko n’erye Busolwe
Eddwaliro lye Kayunga ne Yumbe gakugaziyibwa era abasawo bazimbirwe amayumba n’okugula ambulensi.
