Abasuubuzi ku kizimbe kya Majestic Plaza bali mu kwekalakaasa
Bano basazeewo okuggala amaduuka gaabwe nebatuula ebweru
Bawakanya ekya landi loodi waabwe Drake Lubega okulinyisa ez’obupangisa n’amasanyalaze
Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugugumbulula abasuubuzi bano b’egamba nti babadde batandise okukola effujjo
Kati poliisi etegese olukiiko wakati wa nanyini kizimbe n’abasuubuzi okulaba nti olutalo luggwaawo
Akulembeddemu poliisi Micheal Musana asabye abasuubuzi okukkakkana nga byonna bwebikolebwaako