Skip to content Skip to footer

Museveni ayambalidde UN agamba Uganda esobola okwekuuma

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni akaladde nti Uganda teyetaaga kibiina kyamawanga magatte okwekuuma.

Pulezidenti Museveni bino abyogeredde ku ddwaliro e Mulago, bwabadde atongoza entekateeka zokugezesa eddagala erijanjaba ssenyiga omukambwe Covid-19 lyebatuumye UBV -01N.

Agambye nti waddenga amawanga ga Africa amalala gakumibwa bazungu nekibiina kyamawanga amagatte naye bwekituuka ku Uganda yebezaawo.

Wano era ategezezza nti kyekiseera amawanga ga Africa, okwejja mu buddu obwagatekebwamu abazungu.

Agambye nti abaddugavu basaanye okwejja mu bizibu byabwe bokka, awatali kufukamlirirra muntu yenna.

Leave a comment

0.0/5