Skip to content Skip to footer

Olwaleero kulonda kwabansala b’abakadde, abavubuka nabaliko obulemu

Bya Benjamin Jumbe

Akakiiko kebyokulonda olwaleero kategese okulonda kwaba kansala babaliko obulemu, abavubuka, abakozi nabakadde, mu nkiiko zebibuga, eza distulikiti nemu kibuga ekikulu Kampala.

Abakiise abagenda okukolendebwa kuliko ba kansala babaliko obulemu 2, aba babakadde 2, aba bakozi 2 nababavubuka 2 nga ku buli mutendera era kutekeddwa okuberako ne kansala omukyala omu.

Amyuka ssentebbe wakakiiko kebyokulonda Aisha Lubega agambye nti akalulu kano ka kyama, nga tewali agenda kukirizibwa kulonda ssinga tabeera memba wabibinja ebironda oba Electoral colleges.

Abe Kampala, okulonda kwabakozi kugenda kubeera ku ssomero lya Kyambogo P/S, okwabavubuka ku Kawempe Akamwesi Gardens, abakadde ku ssomero lya Ntinda School of the deaf ate abaliko obulemu ku kitebbe kyakakiiko kebyokulonda e Ntinda.

Abasigadde, okulonda kugenda kubeera ku wofiisi zakakiiko kebyokulonda mu distulikiti ezenjawulo.

Leave a comment

0.0/5