Akulira PDP Dr. Abed Bwanika asuubizza bannayuganda okubazimbira ebisaawe by’ennyonyi ebirala bibiri e Mutukula ne Arua okutumbula eby’obusuubuzi by’eggwanga n’amawanga amalala.
Bino abyogedde atalaaga disitulikiti ye Mpigi olw’eggulo lwa leero.
Ng’ayimiriddeko e Kayabwe ne Buwama, Bwanika era asuubizza eby’enjigiriza eby’obwereere okuviira ddala ku P.1 okutuuka ku siniya ey’omukaaga, ate nga buli muyizi waakufunanga kompyuta ey’obwereere.
Ono era yennyamidde olw’obwavu obususse mu Uganda obutuuse n’okuliisa abantu ekibu ekimu n’okusula ku butanda obwa ffuuti essatu.
Ono asuubizza ekizibu kino okikisaanyaawo ssinga bannampigi bamuwa obululu bwabwe.