Eyesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga Joseph Mabirizi asabye ensonga y’endagamuntu ekolebweeko mu bwangu kubanga eyinza okuleeta akavuyo mu kulonda.
Mabirizi agamba nti gavumenti yasooka kusuubiza nti abalina kaadi beebagenda okulonda kyokka neyefuula ekirabise okukosa abantu abawera
Ono awakanyizza ebigambibwa nti yayimirizza mu kampeyini ze olw’ebbula ly’ensimbi ng’agamba nti yetegekera omulimu guno emyaka 10 emabega kale nga tayinza kulemererwa