Abalwadde ku ddwaliro e Mulago balayidde okwekalakaasa olw’engeri abasawo gyebabayisaamu.
Abalwadde bano bagamba nti kati abamu bamala ennaku nnya awatuukirwa nga teri abayambyeeko yadde okukeberebwa
Abamu ku betwogeddeko nabo bagamba nti obulumi bususse.
Abalwadde abeemulugunya kuliko abafunye obubenje n’abeetaga obuyambi obwa mangu.
Ye omwogezi we dwaliro Enock Kusaasira asuubizza okulondoola ensonga eno kubanga babadde tebannaba kufuna kwemulugunya kwonna