Skip to content Skip to footer

Babagobye mu lufula lwabubbi

Bya Shamim Nateebwa

Abatwala lufula yokukalerwe  abaliko abavubuuka  bebaweze obutaddamu kulinya mulugula eno lwabubbi.

Daudi Nkonge 27 mutuuze we Gayaza   ne Yusuf Kagame 29,  ow’e  be baakwatiddwa abakulembeze ba Lufula ne babakwasa poliisi oluvannyuma lw’okukizuula nti ebisolo bye babadde baleeta babba bibbe.

Sulaiman Ssekannyo ssentebe w’abasuubuzi mu lufula ya Nsooba Slaughter House agambye bakola ekisobooka okulwanyisa  ababbi abaleeta ebisolo mu lufuna ebitali mu mateeka nga kati waliwo n’akakiiko akatuulako omubaka okuva mu poliisi, ewa RDC n’owa Lufula akalondoola ebisolo ebiyingizibwa .

Mungeri yemu ategezezza nga Kagame ne Nkonge si bakozi ba lufula babadde baleeta buleesi bisolo ne babitundamu okutuusa bwe baakizudde nti babba bibbe nga bakozesa akakodyo k’okwambala obukookolo ng’olumala okubba ebisolo babiyingiza kiro mu lufula kyagambye nti n’omukuumi wa lufula naye kirabika alina ky’akimanyiiko nga bagenda kumunoonyerezaako.

Kati bano baweredwa poliisi yokukalwrwe nga okunonyerezza bwekugenda maaso.

Leave a comment

0.0/5