Skip to content Skip to footer

Omubaka Kyagulanyi anenyezza gavumenti kulwabantu be Lusanja

Bya Sam Ssebuliba

Omubaka wa Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu olunaku olwaleero alambuddeko abantu be Lusanja abamenyebwa ba wanyondo ba kooti, abatumwa agambibwa okubeera omugagga Mederd Kiconco agamba nti yagula ettaka lino.

Ssabiiti ewedde amayumba agasoba mu 300 gegaamenyeddwa, wakati mu bukuumi bwa police yomu kitundu ku ttaka yiika 9.

Kati omubaka Kyagulanyi anenyezza nnyo gavumenti olwokulemwa okukuuma abantu ate nejja kubakubagiza nezi weema, bebake omwo.

Ono agambye nti ku byonna ebigenda mu maaso, government evunyizibwa butereevu ngerina okuliyirira abantu bano.

Olunaku lweggulo omukulemebeze we gwanga yakyadeko mu kitundu kino nayimirizza ababade basenda abantu wabeewo okunonyereza era nabawa aobuyambi bwe mmere nezi weemwa.

Leave a comment

0.0/5