Bya Damali Mukhaye ne Sam Ssebuliba
Mu kawefube okutumbula ebyobulamu, Rotary Uganda yakujanjaba abantu ku bwerere mu lusisira olugenda okukulungula ennaku 3 mu district ye Nakasongola.
Bwabadde ayogera ne banamwulire wano mu Kampala president owa rotary club Lugogo Mango tree Eng. Francis Olul, abategesi bagenda kutongoza olusisira lwebyobulamu luno nga 20th ku Lowmukaago ku ddwaliro lya Nakayonza health center mu district ye Nakasongola.
Ategezeza nti rotary club 80 zezegasse okutegeka, obujanjabi buno.
Eno balubiridde okujnjaba amaaso, omusujja nebiralala ebitawaanya abantu mu kitundu.
Kati minisita webyobulamu Sarah Opendi atenderezza aba rotary Uganda olwokukwatiza ku gavumenti, okutuusa obujanjabi eri abantu.
Mungeri yeemu ekibiina ekigatta abasawo, Uganda medical association kivuddeyo okwebuuza lwaki waliwo ebbula lye ddagala mu mwaliro ga gavumenti mu byalo, waddenga embalirira ya ministry yebyobulamu yayongerwako.
Bwabadde ayogera ne banamwulire mu Kampala, spresidenti wekibiina kino Dr Ebuku Ekwaro agambye nti batuseeko mu malwaliro agenjawulo nebakizuula nti eddagala teririiyo.
Kino agambye nti kimalamu amanyi, kuba embalirira ya ministry bagyongeza ne 18%.
Asabye gavumenti eveeyo ennyonyole ku nsonga eno.