Bya Ruth Anderah
Agambibwa okubba TV mu kifo ekisanyukirwamu ekya Palm Gardens e Kikaaya mu Kampala asibiddwa emyezi 3.
Nyombi Justus myaka 23 asibiddwa omulamuzi we daala erisoka ku City Hall Beatrice Kainza oluvanyuma lwa ye kenyini okukiriza omusango gw’obubbi.
Nyombi oluvanyuma lw’okukiriza omusango era nasaba kkooti emusonyiwe nalayira n’obutaddamu mize gya bubbi.
Wabula omulamuzi talonzezzalozezza namulagira yebake mu kkomera e Luzira okumala emyezi essatu ayigireko era kibe nekyokulabirako eri abantu abalala.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Jackie Kyansimire lugamba nti omusajja ono TV y’ekika kya sumsang yajibba nga September 11th 2017 bweyali agenze okukyakala.
TV eno yali ebalirirwamu emitwalo 80 eza Uganda era nga yali ya Palm Gardens.