Bya Magembe Ssabiiti
Omuyizi ku somero lya Humura s.s.s mu distrct ye Kyegegwa Nuwagaba Geofrey abadde asoma S.4 agudde mu kidiba kya mazzi nafa.
Ekidiba omuyizi ono mwafiridde kibadde mu maka gomubaka omukyala owe Kyegegwa mu palament Stella Kiiza ngokufa abadde agenze kuwuga kwekulemererwa nafirayo.
Addumira police e Kyegegwa Benon Byamukama akakasizza okufa kw’omuyizi ono era police omulambo egujeyo, negutwalibwa mu ddwaliro e Kyegegwa okwekebejebwa.