
E Bukomansimbi okulonda kukyankalanye ku kisaawe kye Kasansula oluvanyuma lw’abantu abatanategerekeka okuwamba akuliddemu abalondesa.
Akavuyo kabaluseewo oluvanyuma lw’abawagizi b’ekibiina kya NRM abatanategerekeka okulumba webalondera n’obululu bwebamaze okulonderako nga era bawagizi b’omu ku besimbyewo ku bwa ssentebe bwa disitulikiti Musa Mbaziira.
Ssentebe wa disistulikiti eno Hajji Muhammad Kateregga nga naye yesimbyewo ategezezza bannamawulire nti wakuloopa eri akakiiko k’ebyokulonda okulonda kusazibwemu mu bifo ewabadde akakyankalano.
Abantu 3 bebavuganya ku bwa ssentebe bwa disitulikiti eno okuli eyesimbyewo kululwe Dr. Livingstone Kayondo, muna NRM Musa Mbazira n’owa JEEMA Katerega Muhammad.
Ate ku kyalo Kijomanyi abawagizi ba NRM bakkananye ku ssentebe w’ekibiina kya DP ow’ekyalo nebamukuba mizibu oluvanyuma lw’ebigambibwa nti abasanze bagulirira abalonzi.
Frank Ssebuma alondodde abawagizi bano n’abakuba n’ebifananyi nga bagabira abantu sukaali nga tebanagenda kulonda olumulabye nebamuwuttula tebali ku ba lugambo.
Omubaka we Kalungu West Joseph Ssewungu ategezezza nga ensonga enio bweyagitutte dda ku poliisi nga era Ssebuuma avuddemu amanyo nga kati ali mu ddwaliro.