Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Bernard Kateregga bkateregga

Okutumbuula ebyo’busuubuzi mu gwanga

Olukiiko oluvunanyizibwa okutumbula ebitundibwa ebweru w’eggwanga olwa Uganda export promotions board lutegezezza nga bwewetagisa okuteekawo ofiisi ezenjawulo mu bifo ebitali bimu ebitundibwa ebweru w’eggwanga bwebiba byakweyongera. File photo: Ebumu kibyamaguzi ebitundibwa Okusinziira ku biwandiiko by’ebintu ebyatundibwa ebweru w’eggwanga mu mwaka gwa 2014, Uganda yafunamu obuwumbi  bwa doola 2.6  mu 2015 n’efuna, 2. 73  sso nga byeyagula okuva…

Read More

Abalwadde e Mukono balajanye

File Photo: Abantu mu dwaliro Abatuuze be Ntanzi mu gomboloola ye Ntenjeru district ye Mukono balajanidde gavumenti okuvaayo ebadukirire ku mbeera yebyo’bulamu embi mu kitundu. Bano bagamba balina endwadde ezenjawulo wabula eddwaliro lya gavumenti mu kitundu erya Kojja HC.IV tebabawa bujanjabi bwebetaaga. Bano okubadde nabakadde basangiddwa nga basinda bagamba abasawo ba bboggo, tebabawa ddagala wabula babalagira bagende ebweru we…

Read More

Emmotoka bazigobye ku masundiro g’amafuta

File photo: Esundilo lya mafuuta Poliisi ye Masaka eweze emmotoka zonna okutikkira, okusimba wamu  n’okutikkulira abasaabaze ku masundiro g’amafuta. Aduumira poliisi y’ebidduka e Masaka Wilfred Byamugisha y’awadde okulabula kuno n’ategeeza nga bwebafunye ebiragiro okuva ku kitebe kya poliisi e Kampala oluvanyuma lw’okulabulwa ku bikolwa by’ekitujju. Agamba baawandikidde dda abakulira amasundiro g’amafuta gonna e Masaka okulaba nga ekilagiro kino…

Read More

Abaakoseddwa amataba babadukiridde

File Photo: Abayizi nga bayita mu mazzi Abatuuze be Kalungu abakoseddwa amataba kyaddaaki baddukiriddwa n’obuyambi bafune webegeka oluba. Abantu abali eyo mu 2000 mu tawuni ye Lukaya basigala tebalina webegeka luba olw’amayumba gaabwe kumpi kubuliramu. Abatuuze abaasinze okukosebwa  kuliko abokumwalo gwe Kamuwunga n’abalala. Kati bano bawereddwa ebintu nga emmere omubadde ensawo z’akawunga, obutimba bwensiri , amabaati seminti n’ebirala. Ssentebe wa…

Read More

Kadaga akomyewo ku bwa sipiika

Rebecca Kadaga azzemu okulondebwa ku bwa sipiika bwa palamenti eyekkumi  awatali amuvuganya. Oluvanyuma omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni amukwasizza ddamula ya palamenti wakati mu nduulu okuva eri abawagizi be File Photo:Omwogezi wa Palamenti ya uganda Omubaka Raphael Magyezi y’awaddeyo erinya lya Rebecca Kadaga nelisembebwa Cecilia Ogwal olwo Julius Mukasa Majegere n’awayo ekiteeso baleme kumala budde Kadaga aleme kuvuganyizibwa. Oluvanyuma …

Read More

Kkooti egobye okwewozaako kwabannamateeka ba Mbabazi

Kkooti ensukulumu egobye okwewozaako kwabannamateeka ba Mbabazi abategezezza nga okubibwa kw’ebiwandiiko byabwe mu ofiisi zaabwe ezamenyeddwa bwekibalemesezza okuwaayo obujulizi ku musango oguwakanya ebyava mu kulonda gwebaawaba. File Photo: Ba looya ba mbabazi Ssabalamuzi w’eggwanga  Bart Katureebe bano abalabudde obutekwasa kyakumenya ofiisi zaabwe nga baagala okwongerwayo obudde okunonya obujulizi. Katureebe ategezezza nga bano bwebawtekayo omusango ku lunaku lwenyini olusembayo…

Read More

Ekirwadde kya Cholera kizzemu

Ekirwadde kya Cholera kizzemu okubalukawo mu disitulikiti ye Sironko nga tewanayita namyezi 2 nga kyekiggye kigoye abeeno. File Photo: Omulwadde wa kolera Kati abantu 3 bebakaweebwa ebitanda mu malwaliro agenjawulo.   Ku ntandikwa y’omwaka guno cholera yazingako ebitundu bye Mbale ne Sironko nga era yatta abantu 10 n’abalala nebaweebwa ebitanda.   Omubaka wa pulezidenti e  Sironko Moses Wamoto Kigayi  agamba abalwadde…

Read More

Abalwaniriizi be bembe bali wa Besigye

File Photo: Besigye nga na balwanirizi be dembe lyobuntu Ab’akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga kali mu nteekateeka zakukyalira eyesimbyewo ku bwa pulezidenti Munna FDC Dr.Kizza Besigye wali e Kasangati.   Besigye akyasibiddwa mu maka ge okuva nga okulonda kwa nga February 18th kuwedde Poliisi ewera yakugenda mu maaso n’okukuumira Besigye eweuwe okutuusa nga akakasizza nti ssiwakutabangula mirembe mu…

Read More