Rebecca Kadaga azzemu okulondebwa ku bwa sipiika bwa palamenti eyekkumi awatali amuvuganya.
Oluvanyuma omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni amukwasizza ddamula ya palamenti wakati mu nduulu okuva eri abawagizi be

Omubaka Raphael Magyezi y’awaddeyo erinya lya Rebecca Kadaga nelisembebwa Cecilia Ogwal olwo Julius Mukasa Majegere n’awayo ekiteeso baleme kumala budde Kadaga aleme kuvuganyizibwa.
Oluvanyuma Kadaga akkirizza eky’okumulonda
Wabaddewo omubaka akyamukiriza palamenti bwawaddeyo erinya lya Jacob Oulanya okuvuganya ne Kadaga wabula oluvanyuma amyuka ssabalamuzi Steven Kavuma asazewo okuggalawo okulonda ku kifo kya sipiika Kadaga nayitamu awatali avuganya.
Mu kiseera kino ababaka bali mu kulonda mumyuka wa sipiika nga era Muhammed Nsereko avuganya ne Jacoub Oulanya.
Oulanya erinya lye liweereddwayo minisita w’ebyobulunzi Bright Rwamirama n’asembebwa Betty Amongi.
Ye Nsereko erinya lye liweereddwayo Mugema Panadol n’asembebwa omubaka Winnie Kiiza.
Wabula omubaka omubaka Busongora North William Nzoghu yewunyisizza babaka banne bw’agenze ku katuuti n’akalira mu mukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni nti okubeeerawo kwe mu palamenti tekuli mu mateeka kale nga tasanidde kubeerawo mu kulonda.
Ye omubaka Elijah okupa naye awaddeyo okwemulugunyakwe ku bu kamera obuli mu palamenti n’ategeeza nga okulonda bwekusanye okubeera okwekyama nga busaana okugibwako.
Bino sipiika Rebecca Kadaga abiganye era okulonda amyuka sipiika nekutandika
Mukiseera kino omubaka omu omu y’akowolwa okugenda okusuula akalulu ke.