Skip to content Skip to footer

Okutumbuula ebyo’busuubuzi mu gwanga

Olukiiko oluvunanyizibwa okutumbula ebitundibwa ebweru w’eggwanga olwa Uganda export promotions board lutegezezza nga bwewetagisa okuteekawo ofiisi ezenjawulo mu bifo ebitali bimu ebitundibwa ebweru w’eggwanga bwebiba byakweyongera.

File photo: Ebumu kibyamaguzi ebitundibwa
File photo: Ebumu kibyamaguzi ebitundibwa

Okusinziira ku biwandiiko by’ebintu ebyatundibwa ebweru w’eggwanga mu mwaka gwa 2014, Uganda yafunamu obuwumbi  bwa doola 2.6  mu 2015 n’efuna, 2. 73  sso nga byeyagula okuva ebweru w’eggwanga byali mu buwumbi bwa doola nga 6  ekyafiriza eggwanga obuwumbi bwa doola nga 4.

 

Kati akulira olukiiko luno Elly Twineyo, ofiisi zonna ziri mu kampala sso nga abalimi bangi nebanammakolero bangi bali mu byalo.

 

Anyonyodde nti betaaga akawumbi kamu kokka okuzimba ofiisi 5 bu bifo ebyenkizo okwongera okumanyisa bannayuganda ku bikwata ku kutunda ebintu ebweru w’eggwanga.

Leave a comment

0.0/5