
Bannamateeka ba munna FDC Dr. Kiiza Besigye balabikanga nga abaweddemu essuubi ku musango ogumuvunanibwa.
Omu ku bannamateeka Yusuf Nsibambi agamba Besigye bazze bamukyusa okuva mu kkomera limu okumutwala mu ddala nga bamuggulako emisango gy’okulya mu nsi ye olukwe awatali kukkiriza bannamateekabe kumukiikirira.
Agattako nti n’essawa z’alina okuleetebwa mu kkooti zizze zikyusibwakyusibwa nga tebamutegezezzanako.
Nsibambi agamba kati nabo emikono misibe nga tebamanyi kyakuizzaako kubanga tebamanyi bikwat ku musango gwamuntu waabwe wabula nga bateekateeka kumukyalirako mu kkomera ku balaza ya wiiki ejja.
Besigye asuubirwa okudda mu kkooti nga June 1 oluvanyuma lwa kkooti ye Nakawa okumuzza ku meere e Luzira.