Skip to content Skip to footer

Abagoba ba Taxi 10 badusiddwa mu ddwaliro

File Photo: Taxi mu Park
File Photo: Taxi mu Park

Abagoba ba Taxi 10 badusiddwa mu ddwaliro lya Ntenjeru Health Centre 4 oluvanyuma lwokulwanagana okubaddewo ku mwalo gwe Katosi nga bagugulanira obukulembeze.
Bano bavudde Mukono mu kibiina kya Ntenjeru
Taxi and Lorry Owners nga bakulembeddwamu Edward Lyazi abagambibwa nti bebawangula tender okusolooza, nga babadde bazze kutandika emirimu naye nebalumbibwa ekiwayi ekikulembeddwamu Lubanga Dan, nga bano bawakanya tender District ye Mukono gyeyagaba nti byalimu enguzi
nokumenya amateeka.
Wabaddewo okulwanagana omubadde abakubi bemiggo
nga’abasinga bafunye ebisago ku mitwe.

Poliisi ye Katosi ezze okutaasa nekakkanya embeera wabula tewali bakwatiddwa kubyokulwanagana kuno.
Abakubiddwa nakati bakyali mu ddwaliro e Ntenjeru gyebafunira obujanjabi.
Guno kati mulundi gwakusatu ngaba Taxi balwanagana olwa Tender.

Leave a comment

0.0/5