Skip to content Skip to footer

E`South Sudan neera balemeddwa okutukiriganya

File Photo:Abakulembeze be biwayi ekilwanira e South Sudan
File Photo:Abakulembeze be biwayi ekilwanira e South Sudan

Gavumenti n’abayeekera mu ggwanga lya South Sudan neera balemeddwa okutukiriza nsalesale wa nga 17 August okuba nga bamalirizza okuteeka omukono ku ndagaano y’emirembe.
Nsalesale ono yabaweebwa omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barack Obama bweyali asisinkanyemu abakulembeze b’amawanga ga Africa mu kibuga Addis Ababa mu ggwanga lya Ethiopia.

Gavumenti egamba tebategeera bulungi biri mu ndagaano eno sso nga abagivuganya nabo betemyemu ku ndagaano yeemu.

Nga ayogerako ne lediyo ya Voice of Amerika, akulira abayeekera Dr Riek Machar, ategezezza nga enteseganya ne gavumenti bwezadobonkanyiziddwa wano mu Uganda.

Y’abadde ayanukula omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okutegeeza nga bwewetagisa akadde akalala okwongera okuteesa.
Ebimu ku biri mu ndagaano eno kwekuli okugabana obuyinza.

Leave a comment

0.0/5