File Photo: Abalwanyi ba Boko Haraam
Abateberezebwa okubeera abakambwe ba boko Haram bazindukkirizza oluseregende lw’emmotoka z’amagye okubadde ne ssabadumizi w’amagye ga Nigeria.
Mu kulwanagana omujaasi omu yeyatiddwa sso nga bannalukalala 5 nabo tebalutonze.
Gen Tukur Buratai y’alondebwa ku kifo kya ssabadumizi w’amagye mu July oluvanyuma lwa gweyaddira mu bigere okukwatibwa ku nkoona lwakulemererwa kulwanyisa ba Boko Haram.
