File Photo: Kazooza Mutaale nga somesa
Ab’ekibiina kya Democratic Party batiisizza okukuba Maj. Kakooza Mutale n’abaziyiza emisango b’atendeka mu mbuga z’amateeka.
Kigambibwa nti Kakooza Mutale aliko ekibinja ky’abavubuka ky’atendeka ekya Kibooko squad okwanganga ab’oludda oluvuganya gavumenti abanekalakaasa mu biseera by’okulonda.
Ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao alabudde nti ekibiina kye kitandise okukunganya obujulizi bwonna okuvunaana Mutale nebakolagana nabo…
File Photo: Omukurembeze wa South Korea nga wa ekilayilo
Eggwanga lya South Korea likomezza pokopoko w’olutalo walwo n’okukozesa ebizindaalo ebiwoggana ku nsalo eyawula eggwanga lino n’erya North Korea ekyabadde koleesewo obunkenke wakati w’amawanga gombi.
Okutandika pokopoko ono kyaddirira landmine okutta abajaasi ba south Korea 2 omwezi oguwedde.
The tensions bubbled over in a brief exchange of fire at…
File Photo: Omusajja ngali ku lyato
Gavumenti ya Uganda yakutandika okugezesa okulunda ebyenyanja naddala mu district ye Kalangala nga omu ku Kaweefube gwetandise okuzza amaanyi mu byobuvubi awamu n’okulinyasa omuwendo gwebyenyanja ebijibwa munyanja Nalubaale nga bitundibwa ebweeru we gwanga.
Ebyenyanja ebibadde bivubwa mu Nyanja eno bibadde bikeendede nnyo era nga abantu bangi abakola omulimu gw’okuvuba ku Nyanja…
File Photo: Ekidiba ekasangibwa e Rakai
Entiisa ebutikidde abatuuze bomu gombolola ye Kagamba mu disitulikiti ye Rakai oluvanyuma lwamunaabwe okugwa mu kidiba.
Omugenzi ategerekese nga linaitwe Damiano omutuuze ku kyalo Kagamba .
Kigambibwa nti Alinaitwe abadde agenze ne banne kuwuga wabula ebyembi n’abbira era n’afiirawo.
Ekidiba omugenzi mw’afiridde kyasimibwa gavumenti okutaasa abatuuze ku bbula ly’amazzi mu kitundu.
Aduumira poliisi mu…
File Photo: Bugingo ngali tu kituuti
Entalo mu basumba ba Balokole e Kampala ssi zakukya wabula zeyongera kulanda buli oluyita nga bakayanira abagoberezi nokwerangira obubbi.
Embiranye yamaanyi mu basumba e Kampala nga yenjiri ebulirwa mu makanisa neku mikutu gya Radio ne TV.
Kino kidiridde omusumba Alosius Bujingo okuvaaya nganenya basumba banne okuva ku mulamwa.
Kati omusumba James Mukisa owa…
File Photo: Abawagizi ba NRM
Abamu ku bawandiisi b’ekibiina kya NRM ku byalo mu disitulikiti ye Kalangala baganye okutimba enkalala za bannakibiina kubanga bakyabanja ensimbi zaabwe.
Kino kizingamizza emirimu mu byalo okuli Buswa, Bwendero ne Kyabuyima mu gombolola ye Bujumba .
Ssentebe w’ekyalo Buswa Emmanuel Nsereko ategezezza nga abawandiisi bwebasubizibwa emitwalo 3 buli lunaku okubayamba ku by’entambula n’ebikozesebwa…
File Photo: Owogezi wa police Fred Enanga
Police etegeezeza nga abantu 40 bwebattidwa mu sabiiti gyetukuba amabega yokka okwetoloola uganda yonna .
Okusinziira ku alipoota ya sabiiti efulumizidwa police leero, abantu 21 bebatidwa nga batemwa,okufumitibwa ebiso kko n’okukubwa, abantu 7 battidwa mubikolwa byakutwalirwa mateeka mungalo , basatu bafiiride mubusambatuko bwamaka , songa omuntu omu enfaaye ekyatankanibwa.
Ezimu ku…
File Photo: Kadaga mu palamenti
Sipika wa palamenti Rebecca Kadaga awezze okugenda mumbuga z’amateeka awawabire olupapaula lwamawulire olwamutemeredde egambo nti yazirika, era nga mukaseera kano ali mudwaliro tamanyi biri kunsi.
Nga ayogerako ne banamawulire, Kadaga agambye nti ebyogerwa bigambo okutaki mutwe na magulu, wabula nga ekibade kimubuziza kiva kukuba nti yanuuka mukugulu, era nga abade akolera mumakaage
Ono…
File Photo: Lukwago ne bane e Gomba
Ekibiina kya Democratic party kitonzeewo akabinja kabakubi b’embooko okwategekera okulonda kwa 2016, nga kino kidiridde munamagye Maj Kakooza Mutale naye okutondawo ekibinja kyabakubi b’embooko okukuwutula bonna abagenda okulemesa omukulembeze we gwanga okuwagula okulonda mu 2016
Kano akabinja kebatuumye TJ Solida group ,kagenda kubeera nomulamwa gumu gwakukuuma bigendererwa bya kabondo ka…
File Photo: Kalisoliiso Irene Mulyagonja nga seeka
Kalisoliiso wa gavumenti akizudde nga entendekero lye Kyambogo bweritalina basomesa batendeke bulungi,era nga kino kiviirideko omutindo gw’ebisomesebwa okusereba.
Alippota ya kalisoliso wa gavumenti efulumizdwa leero, eraze nga Kyambogo bwetalina bakenkufu bajuvu nga ogyeko akolanga amyuka ssenkulu wetendekero lino Elly Katunguka, songa nabasomesa abalala ku daala lya Associate professors balina 10…