Skip to content Skip to footer

Etendekero lye Kyambogo terilina basomesa batendeke-Kalisoliiso

File Photo: Kalisoliso Irene Mulyagonja nga seeka
File Photo: Kalisoliiso Irene Mulyagonja nga seeka

Kalisoliiso wa gavumenti akizudde nga entendekero lye Kyambogo bweritalina basomesa batendeke bulungi,era nga kino kiviirideko omutindo gw’ebisomesebwa okusereba.
Alippota ya kalisoliso wa gavumenti efulumizdwa leero, eraze nga Kyambogo bwetalina bakenkufu bajuvu nga ogyeko akolanga amyuka ssenkulu wetendekero lino Elly Katunguka, songa nabasomesa abalala ku daala lya Associate professors balina 10 bokka .
Kalisoliso wa government Irene Mulyagonja agambye nti mukaseera kano kiswaza okuyita Kyambogo etendekero ery’okubiri mubenene mu uganda, kubanga terikyasobola nakukola kunoonyereza kwonna.

Leave a comment

0.0/5