Gavumenti esabiddwa okunonyereza ku bannayuganda 27 abagambibwa okuba nga baggaliddwa mu ggwanga lya Abu Dhabi
Kiddiridde ensonga eno okuleetebwa omubaka we Rubaga mu bukiikaddyo John ken Lukyamuzi ng’agamba nto bano bakwatibwa poliisi yaayo era ng’omu ku bbo yafudde olw’endya embu
Mu kwanukuula, ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda agambye nti ensonga eno nabo ebakutte ko era nga bakuginonyerezaako
Mu ngeri yeemu omubaka wa municipaali ye Mbale Jack Wammai Wammanga asabye ssabaminisra era okunonyereza ku bakulu b’ekitebe ky’eggwanga lino okuva mu Uganda kubanga tebayambye nga bannayuganda batuntuzibwa