
Ab’ekibiina kya Democratic Party batiisizza okukuba Maj. Kakooza Mutale n’abaziyiza emisango b’atendeka mu mbuga z’amateeka.
Kigambibwa nti Kakooza Mutale aliko ekibinja ky’abavubuka ky’atendeka ekya Kibooko squad okwanganga ab’oludda oluvuganya gavumenti abanekalakaasa mu biseera by’okulonda.
Ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao alabudde nti ekibiina kye kitandise okukunganya obujulizi bwonna okuvunaana Mutale nebakolagana nabo kubanga ebikolwa byabwe bimenya mateeka.
Mao agamba bwekiba nga ebitongole ebikuuma ddembe tebirina bakozi bamala, biyise ebirango abantu bewandiise babawe emirimu mu kifo ky’okutendeka abantu mungeri emenya amateka.
Olunaku olw’eggulo loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago naye y’atongozza ekibinja ky’abavubuka enjasabiggu abagenda okwanganga ekibinja kya kakooza Mutale.