
Minisitule y’ebyobulimu n’obulunzi yejjerezza amagye ga UPDF ku bigambibwa nti bagaba ensigo enfu ezitamela eri abalimi mu kawefube w’okwekulakulanya.
Nga ayogerako nebannamawuloire, minisita w’ebyobulimi Vincent Ssempijja ategezezza nga bwegutali mulimu gw’amagye gano kulaba mutindo gwa nsigo zino wabula ogwabwe gwa kuzigaba kale nga minisitule ye y’erina okunenyezebwa.
Ssempijja ategezezza nga kati bwebalagidde ekitongole ekivunanayizibwa ku bimera mu minisitule okulaba nga balongoosa omutindo gw’ensigo zino nga tezinaweebwa balimi.