File Photo: Kazooza Mutaale nga somesa
Ab’ekibiina kya Democratic Party batiisizza okukuba Maj. Kakooza Mutale n’abaziyiza emisango b’atendeka mu mbuga z’amateeka.
Kigambibwa nti Kakooza Mutale aliko ekibinja ky’abavubuka ky’atendeka ekya Kibooko squad okwanganga ab’oludda oluvuganya gavumenti abanekalakaasa mu biseera by’okulonda.
Ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao alabudde nti ekibiina kye kitandise okukunganya obujulizi bwonna okuvunaana Mutale nebakolagana nabo…