
Entiisa ebutikidde abatuuze bomu gombolola ye Kagamba mu disitulikiti ye Rakai oluvanyuma lwamunaabwe okugwa mu kidiba.
Omugenzi ategerekese nga linaitwe Damiano omutuuze ku kyalo Kagamba .
Kigambibwa nti Alinaitwe abadde agenze ne banne kuwuga wabula ebyembi n’abbira era n’afiirawo.
Ekidiba omugenzi mw’afiridde kyasimibwa gavumenti okutaasa abatuuze ku bbula ly’amazzi mu kitundu.
Aduumira poliisi mu kitundu kino Paul Bwakwana akakasizza akabenje kano n’ategeeza nga balubbira ba poliisi bwebayambye okunyulula omulambo guno.