
Abamu ku bawandiisi b’ekibiina kya NRM ku byalo mu disitulikiti ye Kalangala baganye okutimba enkalala za bannakibiina kubanga bakyabanja ensimbi zaabwe.
Kino kizingamizza emirimu mu byalo okuli Buswa, Bwendero ne Kyabuyima mu gombolola ye Bujumba .
Ssentebe w’ekyalo Buswa Emmanuel Nsereko ategezezza nga abawandiisi bwebasubizibwa emitwalo 3 buli lunaku okubayamba ku by’entambula n’ebikozesebwa ebirala wabula n’okutuusa kati tebalabanga ku nusu yonna.
Okusinziira ku bamu ku bannakibiina kya NRM, bwebagenda okukebera amanya gaabwe ku nkalala zino babazza waka anti abawandiisi tebalabikako.
Wabula ye munnamawulire wa NRM Rogers Mulindwa ategezezza nga buli muwandiisi w’ekyalo bw’alina okufuna emitwalo 2 buli lunaku nga owokugombolola alina kufuna 5 nga era ensimbi zonna baziwereza dda .