File Photo: Abawagizi ba NRM
Abamu ku bawandiisi b’ekibiina kya NRM ku byalo mu disitulikiti ye Kalangala baganye okutimba enkalala za bannakibiina kubanga bakyabanja ensimbi zaabwe.
Kino kizingamizza emirimu mu byalo okuli Buswa, Bwendero ne Kyabuyima mu gombolola ye Bujumba .
Ssentebe w’ekyalo Buswa Emmanuel Nsereko ategezezza nga abawandiisi bwebasubizibwa emitwalo 3 buli lunaku okubayamba ku by’entambula n’ebikozesebwa…
