File Photo: Abantu nga bakayana
Okuvaako mu disitulikiti ye Buyende waliwo omusajja eyetuze lwakumusingisa musango gwakubba 5000 ezamukaziwe n’aziguliramu omukazi omulala omwenge.
Benifasiyo mulokole myaka 22 y’alabirizza Mukyalawe n’amubba ssente zino n’atwalamu omukazi omulala mu bbaala nebewamu.
Omukyala yekubidde enduulu mu kkooti y’ekika nebamulagira azikubisemu emirundi 2 asasule 10000 zeyabadde talina era nebamugyako n’omukazi.
Kino kyamuggye Benifasiyo mu mbeera…
File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda
Kkooti enkulu wano mu Kampala eragidde ekkomera ly’abaana e Naguru okuleeta omu ku baana gwebalina avunanibwe ogw’okusobya ku muwere ow’emyaka 2.
Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi wa kkooti enkulu Joseph Mulangira.
Omwana ono kati ow’emyaka 16 kigambibwa nti y’asobya ku munne nga alina emyaka 9 wali mu zooni ye Ggangu e Makindye.
Ono abadde…
File Photo: Minisita Bahati nga seeka
Gavumenti eweze okufafagana n’ekitongole kyonna ekitakwate bulungi nsimbi zenaaba yewoze okukola emirimu.
Minisita omubeezi ow’ebyensimbi David Bahati agamba kuluno akola ku byensimbi yenna ataawe mbalilira ya nsimbi zino ezewoleddwa kanamujutuka.
Bahati tough/ Lug
Wabula ye akulira ekibiina ekya Uganda Debt Network Patrick Tumwebaze alabudde gavumenti okwewala okwewola ensimbi eziriko amagoba agayitiridde bewole kwabo…
File Phot :Besigye nga yogeerako eri abawagizi be
Ba agenti b’ababiri abesimbyewo okukwatira ekibiina kya FDC bendera ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga bakusisinkanamu akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina okwetegereza enkalala z’abakungu nga ttabamiruka w’ekibiina tanategekebwa okuva nga 1-2 September.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kya FDC Dan Mugarura ategezezza nga bwebalina abakungu b’ekibiina abasoba mu 1000 abalina okwekenenyezebwa enjuyi zombi.
Ssenkaggale w’ekibiina…
File Photo: Sekiito ngali na basubuuzi
Nga wakayita olunaku lumu lwokka nga endagaano y’emirembe kyeggye eteekebweko emikono mu ggwanga lya South Sudan, abasuubuzi ba Uganda abakolerayo batandise dda okusaba okuliyirirwa olw’ebintu byabwe byebazze bafiirwa mu lutalo olwabalukawo mu 2013.
Olunaku olw’eggulo omukulembeze w’eggwanga lya South Sudan Salva Kiir kyaddaaki y’atadde omukono ku ndagaano okukomya okulwanagana n’abayeekera ba…
File Photo: Tanka emwanyi e Syria
Omukulembeze w’eggwanga lya Syria Bashar al-Assad, ategezezza nga bw’ali omukakafu nti banywanyi be okuli Iran ne Russia tebanamuvaamu.
Buli kisoboka kikolebwa okuzza emirembe mu ggwanga lya Syria oluvanyuma lw’emyaka 4 nga olutalo lw’omunda lugenda mu maaso nga abamu balowooza Assad yandisindikirizibwa mu nteekateeka y’okuzza emirembe mu ggwanga lino.
Wabula Assad mugumu nti…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Omukazi afumisse taata w’omwana we ekiso mulubuto lwakumusanga namusajja mubuliri.
Dirisa Tomusange omutuuze we Nsambya Gogonya zone yapokya n’ebiwundu mu lubuto oluvanyuma lweyali mukyala we Gida Namwanje okumufumitta ebiso nga amulanga kumulondola gyeyanobera e wanyina kubuko.
Tutegeezedwa nti Namwanje yali yayawukana dda ne muganzi we emyezi ebbiri, kyokka Tomusange omusubuuzi we birime…
File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda
Agava mu kooti enkulu eya kampala, galaze nga bwewaliwo Jjajja ow’emyaka 76 asimbidwa mu kooti nga alangibwa kwenyigira mukutirimbula baawe,.
Omukyalan ono Hanifa Namuyanja avunibwa wamu ne muzukuluwe Hussein Lukenge , nga bano balangibwa kutirimbula Shamim Nalwoga wano Lukuli mu Makindye division.
kigambibwa nti Namuyanja ono nga akwatangeyeeko ne Hadijja Nasaka omusawo…
File Photo: Omuyimbi Eddie Kenzo lwe yali ku Kati Kati
Ekitongole kya KCCA kiweze ebbaala ya Katikati okuddamu okutegeka ekivvulu kyonna , nga bagamba nti eno eri kumpi n’eddwaliro lye Naggulu , kale nga kino kiteeka abalwade mu katyabaga
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba ategezezza nga bwebawandikidde dda abaddukanya ebbaala eno ebbaluwa nga babategeeza ku nsonga…
File Photo: Ekitebe kya Dail Monitor nga kyetolodwa police
Enteseganya z’okukkiriza eggwanga lya South Sudan okwegatta ku mukago ogugatta amawanga ga East Africa ziddamu okutojjera wiiki ejja mu Arusha , Tanzania.
Kino ekyama kibikuddwa ssabawandiisi w’omukago guno Dr Richard Sezibera bw’abadde alambula ekitebe kya Monitor Publications olunaku olwaleero.
Ono atutegeezeza nti ekya South Sudan okwegatta ku mukago gwa…