File Photo: Aba Democratic Party
Abawagizi b’ekibiina kya Democratic Party mu disitulikiti ye Ssembabule bekubidde enduulu eri abakulira ekibiina kino ku njawukana eziyuzayuzizzamu ekibiina kyabwe.
Abawagizi bano kati bagamba bibasobedde tebamanyi wakuwagira olw’ebiwayi ebyeyongera okutondebwawo okuli ekya loodi meeya wa Kampala ekya Truth For Justice, ssaako n’abo abasimbiddwawo ekibiina kya DP ekikulu.
Omuwandiisi wa DP mu bitundu bya…
File Photo: Omwana omulwadde wa sickle cell
Ebibiina byobwanakyewa bibakanye ne kawefube w’okusomesa bannayuganda bonna okwetolola eggwanga ku kirwadde kya Sickle cell.
Ssabawandiisi w’ekibiina ekirwanyisa obulwadde buno okuva mu Amerika ekya Uganda American Sickle cell Rescue Fund Dr. Shalif Tusubira ategezezza nga omwana omu ku buli kkumi abazalibwa bw’aba alina akawuka ka sickle cell.
Anyonyola nti abaana 25,000…
File Photo: Abantu mu dwaliro
Bannayuganda bonna balabuddwa okweyuna amalwaliro ga gavumenti mu kwekebeza siriimu.
Akulira okunonyereza ku kitongole ku ttendekero ly’e Makerere ekya Walter Reed Project Doctor Francis Kiweewa ategezezza nga ebyuma ebisinga mu malwaliro g’obwananyini bwebizuula akawuka kano nga ebbanga liyiseko sso nga ebya gavumenti bikazulirawo.
Dr Kiweewa ategezezza nti n’abasawo mu malwaliro ga gavumenti bekenenya…
File Photo: A member ba NRM
Olukiiko lw’ekibiiba kya NRM olwokuntikko lusubirwa okutuula olunaku olwaleero okuteesa ku nsonga ez’enjawulo okuli enongosereza mu ssemateeka w’eggwanga n’amateeka g’ebyokulonda ebyakayisibwa naye nga omukulembeze w’eggwanga tanabitekako Mukono.
Ssabawandiisi w’ekibiina l Justine Kasule Lumumba ategezezza nga bwebagenda okutunula mu kawayiro akawa abataliba kibiina eddembe okusala okudda mu kibiina kyonna mu mwezi 12…
File Photo:Nakalema Jamiidah ngali ne Kabaka Mutebi
Omumbejja Nakalema Jamiidah alabirira olubiri lwa Gulu mu Kyaggweokulinaana embuga ye ssaza avudde mu mbeera natabukira abakungungabalumiriza okutunda ettaka lyonna okulimalawo.
Agambye ettaka okuli embuga ye Kyaggwe lyali liwerako yiika 49 wabula litundiddwa awatabadde bweruffu.
Ono okuva mu mbeera kidiridde abe ssaza okusenda
emmere ye yonna nga bagala okuzimba amayumba mu nkola…
File Photo: Abantu abalina obulemu
Abalina obulemu ku mibiri gyabwe mu disitulikiti y’e Masaka benyamidde olw’abantu abatali balemu abesimbawo ku bifo byabwe.
Nga bakulembeddwamu akiikirira abalema ku gombolola ye Kyesiiga Bbaale Mudathiru , abalema bano bagamba abantu banji bagyeyo empapula okwesibawo ku bifo by’abalema .
Bbaale agamba abantu nga bano bwebatuuka mu bifo by’obkulembeze belowozaako bokka nebasuula muguluka…
Lumumba nga bamugwa mukafuuba
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Lumumba Kasule agiddeyo mukamawe pulezidenti Museveni empapula z’okusunsulibwa ku bwapulezidenti wali ku ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda
Wakwegatta ku lukalala lw’abantu abasoba mu 30 abakagyayo empapula zino okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2016.
Bano kuliko eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi, eyali meeya wa Kampala Al- hajji Nasser Ntege Ssebaggala n’eyali omumyuka…
File Photo: Abantu mu Buyindi nga bali mu kooti ye kyalo
Mu ggwanga lya Buyindi abawala ab’oluganda 2 basaliddwa gwakusobezebwako olwamuganda waabwe okubulawo n’omukazi omufumbo.
Olukiiko lw’ekyalo lusazewo Meenakshi Kumari myaka 23 ne kaganda ke akato ak’emyaka 15 bakwambulwa mu lujudde olwo abasajja babasobyeko mu lujudde.
Kino kibikuddwa ekibiina ekigaba ekisonyiwo ekya Amnesty International nga era abawala bano…
File Photo: Mbabazi nga kutte foomu emukiliza okwesimba wo ku bwa pulezidenti
Omuwendo gw’abantu abakajayo empapula okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga gulinye okutuuka kku bantu 31.
Olwalero Jerry Kabuye okuva mu kibiina kya Uganda Patriotic Movement, naye agyeeyo empapula.
Wabula omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Talemwa agambye nti omuwendo gw’abagyayo empapula gweyongedde okukendeera era nga n’enaku ezimu tebakyafunayo bantu.
Kinajukirwa nti…
File Photo: Lukwago nga yogeera ko eri abamawulire
Banadiini abegattira mu kibiina kya Inter Religious Council of Uganda basabye government okujawo obubinja byabakubi b’emiggo obutandise okutondebwawo ngatuseberera abalulu ka 2016.
bwabadde ayogera ku lwabanne Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Mubajje alabudde banabyabufuzi okwewala omuzze guno.
kino kijidde mu kiseera nga Major Kakooza Mutale ne Lord Mayor wa Kampala…