
Mu ggwanga lya Buyindi abawala ab’oluganda 2 basaliddwa gwakusobezebwako olwamuganda waabwe okubulawo n’omukazi omufumbo.
Olukiiko lw’ekyalo lusazewo Meenakshi Kumari myaka 23 ne kaganda ke akato ak’emyaka 15 bakwambulwa mu lujudde olwo abasajja babasobyeko mu lujudde.
Kino kibikuddwa ekibiina ekigaba ekisonyiwo ekya Amnesty International nga era abawala bano mu kiseera kino badduse dda ku kyalo.
Ekitongole kino kisabye ab’obuyinza mu ggwanga lino okutaasa abawala bano ku lukiiko lw’ekyalo olwabasalidde ekibonerezo ekikakali.