
Omuwendo gw’abantu abakajayo empapula okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga gulinye okutuuka kku bantu 31.
Olwalero Jerry Kabuye okuva mu kibiina kya Uganda Patriotic Movement, naye agyeeyo empapula.
Wabula omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Talemwa agambye nti omuwendo gw’abagyayo empapula gweyongedde okukendeera era nga n’enaku ezimu tebakyafunayo bantu.
Kinajukirwa nti mu mwaka gwa 2010 abantu abasoba mu 50 bebajayo empapula kyoka abantu 8 boka bebazizaayo.