Abakozi ba Orange Telecom abasoba mu 50 beebatalina mirimu wetwogerera
Bano bafunye leero ebbaluwa ezibaraga nti tebakyaali bakozi ba kkampuni ya Orange
KKampuni ya Orange yagulwa eya Africel omwana oguwedde era ng’abakozi okuva olwo babadde ku bunkenke
Kati ekibiina ekirwanirira ensonga z’abakozi ekya NOTU kiyingidde mu nsonga zino nga kiwandiikidde gavumenti ne kkampuni eno okwemulugunya ku ngeri gy’egobyeemu abakozi
Atwala ekibiina kino Usher Wilson Owere agamba nti abakozi bano babadde balina okugoba n’ensimbi zonna ez’okubagoba oba okubalaga lwaki bagobeddwa, ekitakoleddwa
Owere agamba nti kino kimenya mateeka agakwata ku ddembe ly’abakozi