File Photo: Abasomesa nga bali mu lutuula
Nga okulonda kw’omwaka ogujja kukubye kkoodi, abasomesa balabuddwa obutetaba mu buabufuzi .
Okulabula kuno kukoleddwa akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Tororo Yonah Gamusi Doya ategezezza nga bw’ayagala abasomesa bano okuwaayo empereza yaabwe awatali kyekubirira yenna.
Doya okwogera bino y’abadde ayogerako eri olukiiko lw’abakulira amasomero ga gavumenti nga olusoma lw’okusatu telunatandika.
Ategezezza nga…
File Photo: Ababaka mu Palamenti
Ababaka ba palamenti ebitundu byabwe ebyawereddwa disitulikiti empya batenderezza nyo gavumenti olw’okusalawo bweti.
Palamenti akawungezi akayise y’akakasizza okutondebwawo kwa disitulikiti edala 23 nga kati disitulikiti ziri 135 mu ggwanga.
Twayogeddeko n’ababaka okuli Baka Mugabi, Ignatius Besisira, Rosemary Nyakikongoro, Michael Mawanda, Kaps Hassan Fungaroo n’abalala nebategeeza nga empeereza y’emirimu bw’egenda okubasemberera okumpi.
File Photo: Omakazi nga awa omwana omwenge
Ab’ekibiina ekilafubanira abavubuka ekya Uganda Youth Development Link kyenyamidde olwabannabyabufuzi abatakoze kimala kulwanyisa ettamiiro mu baana abato.
Nga ayogera ku nsonga y’omwenge mu baana, akulira ekibiina kino Rogers Kasirye y’ategezezza nga abavubuka bangi bakeera kutamirukuka olw’obulango bw’omwenge okweyongera.
Kati Kasirye ayagala gavumenti ewere okusabika omwenge mu buveera ssaako n’okukozesa abaana mu…
File Photo: Abasilamu ku kooti
Ebikumi n’ebikumi by’abayisiramu bagumbye ku kkooti enkulu wano mu Kampala nga baagala banaabwe abakwatibwa ku byekuusa ku kutibwa kw’abakulembeze b’abayisiraamu bayimbulwe mangu.
Bagamba tebalaba nsonga lwaki banaabwa bakyali mu kkomera sso nga oludda oluwaabi lulemereddwa okuleeta obujulizi obubalumika.
Nga bayita mu munnamateeka waabwe Fred Muwema bategezezza nga mu March nga 24th abakwate basaba…
File Photo: Emirambo gya bajjasi ba UPDF
Emirambo gy’abajaasi ba Uganda 10 abatiddwa abatujju ba al-Shabab mu ggwanga lya Somali gikomezebwawo ku butaka.
Omwogezi w’amagye g’eggwanga Paddy Ankunda ategezezza nga Al Shababa bweyetyabidde akalimu obuwuka bweyasazewo okulumba enkambi yaabwe.
Abajaasi ba Uganda 12 bebatibwa ku bajaasi b’eggye lyomukago 70 abatibwa awamu mu bulumbaganyi buno.
Amagye ga Uganda gegamu ku…
File Photo: Nambooze nga buuka emisanve gya police
Omubaka wa Munisipaali ye Mukono Betty Nambooze alaze okutya olw’omuwendo gwabasawo abatono mu ddwaliro lya gavumenti mu kitundukye.
Nambooze ategezezza nti newankubadde bateeka gavumenti ku nninga okwongera ku basawo mu gwanga, yo e Mukono baweebwa abasawo babiri bokka okuyamba ku baaliwo ekintu ekyobulabe mu kitundu ekirimu abantu
abangi.
Abadde ayogerera mu…
File Photo : Abakaramoja
Abatuuze mu bitundu byue Karamoja kati bakeesa lukya nga nkoko ya mutaviimu oluvanyuma lw’enjala okutandika okutondola abaayo.
Mu municipaali ye Moroto abantu 3 bebakafa lwakubulwa kyebazza eri omumwa.
ssentebe w’ekyalo Cambis Pamita Haji ategezezza nti singa tewabaawo kikolebwa emirambo gy’enjala emirala gyakugwa.
Abasinga kati basamba nsiko okunonya ebibala balye ebyo olw’ebbula ly’emmere.
File Photo: Emotoka ya bazinya moto nga ezikiza omuliro
Poliisi ye Masaka ekutte omukulu wamu ne nanyini ssomero eryakutte omuliro nemufiiramu omuyizi.
Ababiri bano bakwatiddwa oluvanyuma lw’omuwala Asmat Najjuko okufiira mu nabbambulira w’omuliro.
Okunonyereza okwakakolebwa kulaga nga omuliro guno bwebavudde ku masanyalaze.
Okusinziira ku akulira poliisi enzinya mooto e Masaka Bernard Ssembusi ategezezza nga ensonga eno bw’elina okubeera ekiggula…
File Photo:Aba boda boda nga bali ku pikipiki zabwe
Omuvuzi wa Bodaboda akutuseko okugulu oluvanyuma lw’okutomerwa emmotoka wano ku Jinja Road.
Atomeddwa ategerekese nga Oweyisigire Johnson nga abadde adda Lugogo Jeep namba UAV 388 n’emusabala.
Abamu ku berabiddeko n’agage batunyonyola.
Atwala poliisi y’ebidduka ku Jinja Road Godfrey Mwesigye ensobi agisalidde mugoba wa mmotoka abadde ayogerera ku ssimu nga avuga…
File Photo: Bosco Ntaganda ngali nabasajja be
Eyali omuyekera mu ggwanga lya Congo Bosco Ntaganda wakusimbibwa mu maaso ga kkooti y’ensi yonna ku misango gy’entalo.
Ku gimu ku misango gino kuliko egy’obutemu, okutwala abaana abato mu magye, okusobya ku bakyala n’emirala wabula nga ye bino byonna abyegaana.
Abantu abasoba mu 2000 abatusibwako ebikolobera bakkiriziddwa okugenda mu kkooti eno…