
Abatuuze mu bitundu byue Karamoja kati bakeesa lukya nga nkoko ya mutaviimu oluvanyuma lw’enjala okutandika okutondola abaayo.
Mu municipaali ye Moroto abantu 3 bebakafa lwakubulwa kyebazza eri omumwa.
ssentebe w’ekyalo Cambis Pamita Haji ategezezza nti singa tewabaawo kikolebwa emirambo gy’enjala emirala gyakugwa.
Abasinga kati basamba nsiko okunonya ebibala balye ebyo olw’ebbula ly’emmere.