Abantu 24 beebattibwa mu ggwanga mu wiiki gyetukubye emabega
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti abasinze okufa bakubiddwa masanyalaze mu nkuba eno etonnya obutasalako ate abalala bafiira mu bukubagano mu maka.
Enanga agambye nti amawulire g’ennaku agasinga gaava Kibaale ng’omusajja ategerekese nga Anatoli Tugume yatta abaana be bana n’omukyala ate nga e Mbale waliwo abaana mukaaga abaafa oluvanyuma lw’okunywa obuugi obulimu obutwa
Enanga aabye abantu okwongera okubeera abegendereza olw’obubenje bw’amasanyalaze obutera okweyongera mu nkuba