Poliisi egamba nti ssiyakukkiriza Muntu yenna kufulumya bivudde mu kulonda kwa 2016
Poliisi egambye nti efunye amawulire okuva mu bibiina by’obwa nnakyeewa nti bitegeka okukungaanya ebivudde mu bifo ebitali bimu mu kalulu ka 2016
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti eby’abantu abatali bamu okufulumya ebivudde mu kulonda bikuma mu bantu omuliro era tebajja kubikkiriza
Poliisi era egamba nti wiiki esooka eya kampeyini tebaddeemu nnyo mivuyo.