Eyali ssabaminista w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi kyaddaaki yegasse ku mukago gw’abavuganya ogwa Democratic Alliance
Kiddiridde okussa emikono ku ndagaano emukkiriza okukolagana na bano.
Mbabazi yakulembedde kibinja kyeyatuumye Go Forward era olw’amaze okussa omukono ku ndagaano n’akwasibwa foomu ezimukkiriza okuyingira olwokaano lw’okulonda anaakwata bendera.
Ababaddewo nga bino bigenda mu maaso kuliko Wasswa Biriggwa, Asuman Basalirwa, Zac Niringiye n’abalala abatwala omukago.
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okussa omukono ku ndagaano, Mbabazi yategeezezza nga bw’ajja okugenda mu maaso n’enkiiko z’okwebuuza ku balonzi ng’eyesimbyewo ku lulwe okutuuka ng’olukiiko lulonze anakwata bendera y’omukago.
Agambye nti ezimu ku nsonga zeyemulugunyizzaako tezinnakolebwaako kyokka ng’abakulu batudde okubikolako.
Agambye nti kati wakudda mu bukiikakkono bw’eggwanga ssabbiiti ejja.
