Abantu abawerera ddala 107 beebafudde n’abalala 230 nebalumizibwa ekimotoka kiwetiiye bwekikutuseeko ekikono nekigwa wakati mu bakkirizza e Mecca mu Saudi Arabia.
Ekikono kino kigudde wakati mu muzikiti ogusinga obunene mu nsi yonna era kino kibaddewo mu kusaala kwa Juma
Akulira ensonga z’ebyokwerinda mu Saudi Arabia ategeezezza nti omuyaga ogwmaanyi ogujjidde mu nkuba gwekuzadde ebizibu.
Kino kizze nga abayisiraamu bangi bateekateeka okutuuka mu kibuga kino okukola hijja.
