Skip to content Skip to footer

Gen Aronda afudde

Gen aro

Abadde minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen. Aronda Nyakairima afudde.

Aronda afiiridde ku kisaawe e Dubai nga yakava e South Korea ng’abadde n’emyaka 56.

Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategeezezza nti Gen Aronda afiiridde ku kisaawe e Dubai nga yakava mu South Korea era ng’abadde alinda nyonyi ndala.

Yye Sipiika wa Palamenti omukyala Rebecca Kadaga agambye nti akadde konna palamenti yakulangirira enteekateeka z’okukungubagira n’okuziika omugenzi.

Aronda eyazaalibwa nga 7th July 201959  yoomu ku basajja abakasinga okuwangaalira ku kifo ky’okuduumira amaggye nga kituulako okuva mu mwaka gwa 2003 okutuukira ddala 2013 lweyalondebwa nga minisita.

Yegatta ku bayekeera ba NRA mu mwaka gwa 1982 amangu ddala nga yakava e Makerere.

Ng’abayekeera bawambye yakola ng’omukessi mu maggye g’eggwanga era oluvanyuma yakuzibwa okumyuka eyali atwala ekiwayi ky’abakessi gyeyajjibwa n’assibwa mu kibinja ekikuuma omukulembeze w’eggwanga.

Eno gyeyava n’akola ng’aduumira abakuuma etterekero ly’ebyokulwanyisa era eno gyeyava n’alondebwa okuduumira amaggye

Abadde aweereza ng’omubaka w’amaggye mu palamenti okuva mu mwaka gwa 1996 okutuuka jjjo lya balamu mu mwaka 2013.

Aronda lweyalayizibwa okufuuka minisita yasuubiza okuteereeza ebintu bingi mu minisitule eno era yatandikira ku nsonga za paasipoota n’ensonga z’abakozi okubongerako okusobola okuwereeza abantu obulungi

Yyo minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga egamye nti okufa kwa Gen Aronda kkonde lya maanyi eri eggwanga

Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule  eno Stephen Kagoda agamba nti minisitule emufiiriddwa nnyo kko n’amaggye kubanga abadde aweereza n’omutima gumu.

Leave a comment

0.0/5