Bya Ndaye Moses.
Government etegeezeza nga amayumba 100 agamu kwago agasoba mu 900 gebalina okuzimbira abantu be Buduuda bwegagenda okuba nga gawedde obutasukka mwaka gujja nga mu February.
Twogedeko ne commissioner akola ku bigwa tebiraze mu office ya ssabaminister Martin Owor naagamba nti singa okuzimba amayumba gano kuggwa mu bwangu , abantu bano baakusengulwa bagibwa mu bifo eby’obulabe omutera okubuutikirwa etaaka mu biseera by’enkuba.
Kinajukirwa nti amayumba agasoba mu 140 gegaasanyizibwawo mu omwaka guno mu gombolola ye Bukalasi etaka bwelyabutira ebyalo 11, abantu abasoba mu 800 nebasigala nga babundabunda