Skip to content Skip to footer

Ekidyeri kya MV Kalangala kizzemu okukola

mv

Ssanyu gyerere eri abatuuze n’abasuubuzi ku kizinga ky’e Kalangala oluvanyuma lw’ekidyeri kyabwe ekya MV Kalangala okuddamu okukola.

Ekidyeri kino kyaali kyaafa kati omwaka ogusukka mu mulamba nga kibadde kiddabirizibwa ku mwalo gwe Mwanza mu ggwanga lya Tanzania.

Omwogezi wa minisitule y’ebyentambula  Susan Kataike agamba basobodde okukikanika nga kati kikolera ddala bulungi

Kataike alina esuubi nti ebyentambula byakutumbulwa nga kwogasse n’ebyobusuubuzi.

Leave a comment

0.0/5