Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole ekivunayizibwa ku kuwandiisa abantu mu gwanga ekya National Identification Registration Authority (NIRA) kigamba kisobodde okuwandiisa abantu, okufuna ebibogerako.
Bwabadde ayogerako naffe, opmwogezi wekitongole, Gilbert Kadilo agamba nti bann-Uganda obukadde 27 bebakawandiisa, nga kuliko abayizi obukadde 10.5 ate abantu abakulu obukadde 16 nebaweebwa ne nendaga muntu.
Kinajjukirwa mu May owomwaka guno, NIRA yalangirira era netandika entekateeka yokuwandiisa abaana mu masomero, opkufuna ebibakwatako.
Ate abantu akakdde 1 essimu zaabwe zajibwa ku mpewo, akakiiko kebyempuliziganya mu gwanga, olwobutawandiisa simu Carda zaabwe nendaga muntu.