Skip to content Skip to footer

Dr Besigye ayagala Sam Kuteesa ateekebweko envumbo

Bya Damali Mukhaye.

Eyaliko ssenkaggale wa  FDC Dr Kizza Besigye asabye government ye gwanga lya America n’amawanga amalala agawalana enguzi okuteeka evumbo ku minisita  wa Uganda akola ku nsonga z’amawanga amalala Sam Kuteesa.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire nga asinziira mu makaage wali e Kasangati, Besigye agambye nti okulya enguzi kukudde ejembe mu mwaka guno ogugwako 2018, kale nga ekyamangu kigwana okukolebwa okukangavvula abanenene mu government abagufudde omuze okubba ensimbi.

Ono agamba nti obukakafu weebuli obulaga nti kuteesa ono yafuna ekyojja mumiro kya kawumbi 1.9 okuva eri munanasi wa China newankubadde yeebuzabuuza.

Wabula olunaku olw’eggulo munamateeka wa government Willim Byaruhanga yasomye alipoota ku nsonga z’omukulu ono nga eraga nti situgaanye erinyalye lyayogerwako mu musango guno, naye talina musango gwonna gumuvunanibwa mu America nga bwebigambibwa.

Leave a comment

0.0/5