Skip to content Skip to footer

Eyasse munne agguddwaako gwa ttemu

Omuvubuka eyasse munne ng’amulanga okumwagalira omukazi bamugguddeko gwa butemu.

Ivan Kamyuka nga y’atwala abakozi mu kkampuni ya Lake Bounty Ltd asimbiddwa mu kkooti olw’eggulo lwaleero n’asomerwa emisango.

 

File Photo: Ivan ngali ne muganziwe
File Photo: Ivan ngali ne muganziwe

Kamyuka omutuuze we Kisaasi Kyanja mu divizoni ye Nakawa asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka e Nakawa Christine Nantege atamukkirizza kubaako na ky’anyega kubanga omusango gw’aliko gwanaggomola.

Oludda oluwaabi olukulembeddwaamu Julius Atuhairwe lugamba nti nga 2nd omwezi guno , yasse John Ahimbisibwe abadde amanyiddwa ennyo nga Johnnie.

Asindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuuka nga 18th omwezi gw’omunaana lw’anadda mu kkooti.

Kkooti era etegezeddwa nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5