Skip to content Skip to footer

Eyabadde anoba n’omwana atemeddwatemeddwa

File Photo:Omukazi nga wese omwana
File Photo:Omukazi nga wese omwana

Omusajja atemyetemye mukyala we lwa kumusaba kunoba na mwana we.

Sylivia Nakigudde y’akiguddeko Gerald Kaggwa gw’alinamu omwana omu bw’asoowaganye naye wabula mukwawukana n’amusaba obutanoba na mwana we.

Omukyala ono agaanye era wano weewavudde olutalo omusajja n’amutemateemaomutwe gwonna.

Bino bibadde ku kyalo Buziba e Buwaya ku mwaalo nga mu kiseera kino Nakigudde aleetedwa ku ddwaliro e Mulago gyetumusangirizza .

Leave a comment

0.0/5