Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka wa munisipali ye Mukono Betty Nambooze asabye gavumenti okutusiza bann-Uganda obujanjabi nobukuumi.
Agambye nti ensimbi nnyingi ezisasanyizibwa okujanjaba abantu ebweru, songa nebyobujanjabi kuno kisoboka okulongooka.
Bino abyogeredde ku ddwaliro e Kiruddu gyakumirwa nokujanjabibwa, bwabadde ayogerako ne banamwulire.
Ono era kukulumidde abakungu ba gavumenti bagamba nti bajanjabibwa ebweru we gwanga ku nsimbi yomuwi womusolo, ate nebatafaayo kulongoosa bujanjabi wano.