Bya Abubaker Kirunda.
Polisi e Kaliro ekutte omusajja wa myaka 28 nga ono alangibwa gwakutta mwana mujjananyina.
Attidwa ategerekese nga Yaquob Kaisambira omutuuze we Namaremba mu gombolola ye Namugongo
Omusajja ono kigambibwa nti yabadde egenze ewa mukyalawe gyeyanobera nga ayagala mukyalawe akomewo, kyoka bweyalabye awalidde nawambamu akaana kano.
Polisi egamba nti omusajja ono yandiba nga yabadde ayagala kukoze kaana kano nga akalandira okuzza omukyala ono, kyoka bweyagaanye, naatama natta akaana kano.
Twogedeko n’akola kubuzzi bw’emisango ku police yeeno David Agi nagamba nti ono mu kaseera kano akwatiddwa