
Olukiiko lwa ba minisita lutandise okukubaganya ebirowoozo ku municipaali empya ttaano ezigenda okutondebwaawo.
Minisita akola ku gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesigye ategeezezza nti ebibuga15 byebyasaba okufuulibwa municipaali kyokka bitaano byebyayitamu okuli Mbarara, Arua, Gulu, Jinja ne Mbale byebyayitamu
Mwesigye era anyonyodde nti ekigendererwa mu kino kutuusa ku bantu mpereeza n’obukulembeze obutuufu.
Mwesigye bino abyogedde ayogerako eri bannamawulire ku lunaku lw’okukuza gavumenti z’ebitundu olugenda okukwatibwa nga 10 omwezi guno era emikolo gyakubeera Mbarara.